
Mwana muwala Anita Fabiola buli lunnaku ayongera kusikiriza basajja kuba asobodde okweteekamu ensimbi era annaku zino abasajja bangi begomba okufukirira ekitone kye.
Fabiola y’omu ku bawala abesunga konsati y’omuyimbi Fille mukyala wa Mc Kats ku Golf Course Hotel mu Kampala nga 2, Febwali, 2018 era asobodde okukwata ka vidiyo okowoola abantu bonna obutasubwa.

Fille akuyimbidde ennyimba mpitirivu nnyo omuli Katijjo, Mbeera Eno, Mpola Mpola, What did I do, Gwe Asinga, Kyewankola n’endala era zonna asuubiza okuziyimba mu konsati ye.
