Spice Diana
Spice Diana

Oluvanyuma lw’omuyimbi Spice Diana okomekereza emisomo gye, atandikiddewo okulya obulamu okwesasuza ebbanga lyona ly’amazze ng’ali ku misomo.

Spice Diana yatikiddwa diguli mu Industrial Fine Art sabiti ewedde ku lunnaku olwokutaano ku yunivasite y’e Makerere era mu kiseera kino, ali okwetekerateekera consati ku Front page Hotel in Namasuba nga 2, Febwali, 2018.

Wabula mu kiro yalabiddwako ku Club Play mu Kampala ng’alya obulamu era yasobodde okulaga essanyu lye ku mukutu ogwa Instagram.