Roden Y Kabaako
Roden Y Kabaako

Omuyimbi Roden Y Kabaako yakyamudde abantu mu kirabu Guvnor mu Kampala mu kiro ekikeseza olwa leero era yagenze okuvaayo ng’afunye omudidi gw’ensimbi.

Kabaako mu Guvnor yabadde awerekeddwako abawagizi be era mu kirabu wasangiddwayo byana biwala ebinyirira bingi ddala nga byona byambadde bukokoonyo.

Mu kirabu, mwana mulenzi Kabaako yabadde ku mulamwa era yatambudde mpolampola okulumba omugagga nanyini kirabu Charlie Lubega eyali kafulu mu kufuumuula mmotoka z’empaka okufuna ku nsimbi wakati mu bantu okusakaanya amangu ddala nga yakamala okukyamula ku bantu.