Roden Y Kabaako
Roden Y Kabaako

Mu nsi yonna, abantu abeyambisa ebitone byabwe okufuna ssente omuli abasambi b’omupiira, abayimbi, bannakatemba n’abalala bazibu nnyo okutuukirira era abantu bangi basigala babatwala nga ebirooto kyabwe.

Wabula embeera eyo ku muyimbi Roden Y Kabaako sibwekiri kuba ye asobodde okulaga nti muntu w’abantu nnyo era awadde omukisa n’abaana abato okumutukirira.

Roden Y Kabaako n'omwana
Roden Y Kabaako n’omwana

Okusinzira kavidiyo akali ku mukutu gwe ogwa Instagram, Kabaako asobodde okuwa omukisa omwana okukuba omuziki naye, ng’amwana ali mu kuzina amazina.