
Kyaddaki akulira Daawa mu Uganda Sheikh Nuhu Muzaata alabudde abasajja okwegendereza abakyala b’ennaku zinno kuba bangi bagala nnyo ssente okusinga omukwano.
Sheikh Muzaata agamba nti abakyala bangi bali mu bufumbo lwa ssente wabula ssi mukwano era y’emu ku nsonga lwaki okulwanagana kweyongedde.
Mungeri y’emu agambye nti abaana abawala bangi bagala nnyo ssente okusinga ku mayembe n’okwefuula abatagala kulya nnyo kyoka nga balina omululu.
