
Bannayuganda batandiise okwewunya omuyimbi Jose Chameleone engeri gye yakutte mu nsawo y’omugagga Brian White okubba ssente sabiti ewedde ku Case Clinic mu Kampala.
Kavidiyo akali ku mikutu egyenjawulo okuli Face Book, WhatsApp n’emirala kalaga nti Chameleone yasooberedde Brian White nakwata mu nsawo y’emabegga n’abba akavangata ka ssente kyokka ate neyekaza.
Wabula Chameleone yalabiddwa muyimbi munne DJ Michael n’abantu abalala.
Brian White yasalawo okweyambisa abayimbi okuli Cindy, DJ Michael, Good Lyf, Pallaso ne Chameleone okutambuza kampeyini y’okuyamba abantu mu kibiina kye ekya “Brian White Foundation charity” kyoka abamu batandiise okubba ssente zayinza okweyambisa.
