
Kyaddaki omugagga Bryan Kirumira amanyikiddwa nnyo nga Bryan White eyegulira erinnya mu kumansa ssente avuddeyo ku bigambibwa nti omuyimbi Jose Chameleone yabba ssente ze.

Ku ntandikwa ya sabiti eno, akatambi kabadde kasaasaana nti Chameleone yasooba mpola nakwata mu nsawo ya Bryan White nabba ssente we yali agenze ku Case Hospital mu Kampala okuwaayo obuyambi eri omuyimbi Mowzey Radio eyakubwa ng’akyali mu ddwaliro.
Wabula Omugagga Brian White avuddeyo ku nsonga eyo.
Mungeri y’emu n’omuyimbi Jose Chameleone naye afunye omukisa okwewozaako
