Fifi Da Queen
Fifi Da Queen

Mwana muwala Fifi Da Queen ayongedde okusomooza abasajja bonna abali bagala okulya ebintu bye kyoka nabalemesa n’abbo abaali babiriddeko.

Fifi sabiti ewedde yatongoza obufumbo bwe era yayanjula bba Abdallah Nsubuga mu bazadde ku kyalo Bulemezi mu diditulikiti y’e Luweero.

Fifi Da Queen ne bba
Fifi Da Queen ne bba

Bukya ayanjula bba, abamu ku bantu abatamwagaliza batandiika okumwogerera n’okusingira ddala abaali balidde ku bintu bye kyoka ye ayongera kukola ebyo ebisanyusa bba Nsubuga n’okunyiiza bonna abatamwagaliza.