Kyaddaki omuyimbi Jose Chameleone avuddeyo n’obusungu oluvanyuma lw’omuyimbi Moses Ssekibogo amanyikiddwa nga Mozey Radio owa Goodlyfe okuffa enkya ya leero mu ddwaliro lya Case Hospital mu Kampala.

Chameleone bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku ddwaliro lya Case Hospital agambye nti ettima n’obutaagaliza y’emu ku nsonga lwaki essaawa zinno, Radio kati zembuyaga ezikunta.

Mungeri y’emu ajjukiza bannayuganda okomya okusiima abantu abafudde kuba tekiyamba era buli muntu yenna alina okusimibwa ng’akyali mulamu.

Chameleone agambye nti Uganda efiridddwa nnyo omwana abadde alina ekitone ate mukwano gw’abantu bonna mu ggwanga lino.

Mozey Radio aziikibwa ku Lwamukaaga e Kaga e Nakawuka awali amaka gabadde azimbidde nnyina.