Kyaddaki omuyimbi Douglas Mayanja (Weasel Manizo) avuddeyo ku ngeri gy’agenda okuyimba oluvanyuma lwa Moses Ssekibogo (Mowzey Radio) okuffa.
Weasel agamba nti bangi ku bannayuganda babadde bagamba nti Radio okuffa kwe, agenda okugwa wabula agamba nti agenda kuyimba yekka ate agenda kukuba Reggae kuba amutegeera bulungi nnyo.
Mungeri y’emu agambye nti alina okuyimba nnyo okukuuma ekitiibwa kya Radio n’okuswaza abantu bonna abazalawa.
https://www.youtube.com/watch?v=WqT10IKX3_8
