
Kyaddaki Gen Kale Kayihura avuddeyo n’amannyi ku nsonga z’omugenzi Mowzey Radio eyazikiddwa sabiti ewedde ku kyalo Kagga e Nakawuka.

Gen Kayihura agamba nti bawunsa eyakuba Radio mu bbaala ya De Bar Entebbe kirabika yali anywedde ebiragalalagala omuli enjaga kuba tewali muntu yenna ategera eyinza kukola kikolwa bwekityo.
Agamba nti Poliisi etekeddwa okunoonyereza nnyo abantu ng’abbo bakwatibwe kuba tewali akirizibwa kutwalira mateeka mu ngalo.
