Omugagga Bryn White ayongedde okulaga nti alina ssente empya n’enkadde era asobodde okuzeyambisa okuyamba abantu abali mu mbeera embi.

Bryn White
Bryn White

Olunnaku olw’eggulo, Bryn White yabadde Mityana era yasobodde okusomesa abantu ebikyamu ebiri mu kunywa enjaga, ebirungi ebiri mu nkola y’ekizaala gumba n’ebintu ebirala ebiyinza okuyamba omuntu yenna okukyusa embeera ze.
Mungeri y’emu yasobodde okuyamba abantu bonna omuli abalwadde abetaaga ensimbi okutaasa obulamu, okuyamba abakyala abalina ebibiina basobole okwekulakulanya n’abavubuka.
Bryn White wadde bangi ku bannayuganda bakyewuunya amakkubo ga ssente zalina, asobodde okuyamba abantu okusinga ku bagagga abalala abali mu ggwanga lino.
https://www.youtube.com/watch?v=jWi64h2LcJU