Bya Nakaayi Rashida
Kyaddaki bannakibiina kya Democratic Party (DP) bawakanyiza ebigambibwa nti omuyimbi Ronald Mayinja w’akibiina kyabwe kyoka mu kiseera kino, abaliddemu olukwe.
Kinnajukirwa ku Ssande ewedde nga 25, Febwali, 2018, bannakibiina kya National Resistance Movement (NRM), abawagira okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga lino nga bakyusa akawayiro 102B mu sseemateeka wa Uganda, batekateeka akabaga, okwesanyusa kyebatuukako era ssentebe w’ekibiina kyabwe Yoweri Kaguta Museveni yali mugenyi mukulu ku mukolo ogwali mu disitulikiti y’e Kiboga.
https://www.youtube.com/watch?v=OwHJYtjnE3s
Abamu ku bayimbi abakyamula abantu kwaliko Spice Diana, Roden Y – Kabbako, Ronald Mayinja n’abalala kyoka bangi ku bannayuganda bali balowooza nti Mayinja tasobola kuyimbira ba NRM kuba wa kibiina kya DP era y’omu kwabo abali bawagira omubaka we Mukono Betty Nambooze Bakireke mu kiseera nga Pulezidenti wa DP Norbert Mao alemeseza Nambooze okwebuuza ku bantu mu Buganda ku nsonga z’ekibiina.

Gerald Siranda
Gerald Siranda

Wabula aba DP nga bakulembeddwamu Ssaabawandiisi w’ekibiina kyabwe Gerald Siranda, bagambye nti Ronald Mayinja tamanyiddwa mu kibiina kyabwe kuba talina kaadi ya DP era tebayinza kumulemesa kukola mirimu gye ng’abayimbi abalala bonna.
Mungeri y’emu agambye nti Mayinja okuyimbira Pulezidenti Museveni kiraga nti ennyimba ze okuli “AFRICA” aziyimba kuwudiisa bantu.

https://www.youtube.com/watch?v=WyDaCwFvghE