Omuyimbi Sheebah Kalungi ayuugumiza Kirabu Amnesia mu Kampala mu kiro ekikeseza olwa leero n`asanyalaza emitima gy’abasajja.
Buli Lwakuna ku Kirabu Amnesia, lunnaku lwa Campus Nite era abayimbi bangi nnyo abaletebwa okukyamusa abantu era y’emu ku nsonga lwaki Sheebah yaleteddwa.
Ennyimba zonna zayimbiddwa era abasajja bangi obwedda bagamba ” Sheebah otusibidde enyintu, tuweeko” wakati mu ndogo okusindogoma.
















