
Omubaka wa Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine asuubiza nga bw’agenda okusisinkanako omuyimbi Ronald Mayinja okutangazibwa lwaki yali omu kwabo, abayimbira bannakibiina kya NRM nga bajjaguza ku ky’okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga lino.
Sabiti ewedde ku Ssande, aba NRM batekateeka omukolo mu disitulikiti y’e Kibogo, okusanyukamu n’okwekulisa okukyusa sseemateeka w’eggwanga lino okukyusa akawayiro 102B akagyawo ekkomo ku myaka gy’omuntu yenna ayagala obukulembeze bw’eggwanga lino era ssentebe w’ekibiina kya NRM, Yoweri Kaguta Museveni yeyali omugenyi omukulu nga n’abayimbi abenjawulo omwali Ronald Mayinja, bebasanyusa abagenyi.

Wabula Omubaka ate nga Muyimbi Robert Kyagulanyi Ssentemu agamba nti ateekeddwa okwebuuza ku Mayinja lwaki yakola ekikolwa ekyo kuba kiraga nti ayongedde okukyusa endowooza ye.
Bino yabyogeredde ku National Theatre mu Kampala olunnaku olw’eggulo.
https://www.youtube.com/watch?v=7HoyjWIaB8s
