Rema Namakula ne Chris Evans
Rema Namakula ne Chris Evans

Omuyimbi Rema Namakula ne Chris Evans bawadde abadigize essanyu ku Serena Hotel mu Kampala era bonna bavuddeyo bakakasiza nti bombi basobola okuyimba ennyimba z’omukwano.

Rema ne Evans balina oluyimba lwabwe “Linda” era olunnaku olw’eggulo mu konsati ya Rema, bombi balinye ku siteegi okuyimba oluyimba lwabwe ng’oyinza okugamba bali mu mukwano oba baagalana.

Bangi ku bannayuganda bagamba Evans musajja ayagala nnyo abakyala kyoka olunnaku olw’eggulo Rema obwedda asembereza Evans ssumbusa oba amukwateko mu kiwato kyoka bambi nga Evans atya okusembeza omukono kuba bba wa Rema, Eddy Kenzo yabaddewo.

Olunnaku olwaleero (10, March, 2018), Rema ali ku Satellite Beach e Mukono ate olunnaku olw’enkya ku Sande (11, March, 2018) ali ku Freedom City e Namasuba.

https://www.youtube.com/watch?v=15fSlpLrgmY