Bebe Cool
Bebe Cool

Kyaddaki omu ku bayimbi abayimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba Bebe Cool ayongedde okulaga nti alina okwagala eri abantu mu ggwanga lino.

Bebe Cool olunnaku olw’eggulo yabadde Mukono eri omukyala Nakatte Oliva eyasanyalala amagulu nga mu kiseera kino yetaaga obuyambi obwenjawulo.

Bebe nga mu kiseera kino alina enyimba mpitirivu nnyo omuli Love You everyday, Byebyo, Freedom, African Gal, Go mama, Everywhere I go, Anything for Love n’endala asobodde okukwata ku nsimbi zalina entonotono nagulira omukyala akagaali mwayinza okutambulira.

Asabye abantu bonna abayinza okuyamba omukyala Nakatte okusindiika obuyambi ku namba y’essimu 0752834766 okusobola okuzimbira omukyala ennyumba, okufuna eby’okulya n’obuyambi obulala.

https://www.youtube.com/watch?v=zslZJL8lL7U