Bryan White ayongedde okulaga nti y’omu ku bagagga abato abali mu ggwanga lino era ku ky’okusasaanya ensimbi takirinako buzibu bwona.

Olunnaku olw’eggulo, Bryan White yawerekeddwako abayimbi bangi nnyo ne bannakatemba mu kutongoza ekibiina kye ekya Bryan White Foundation ku mukolo ogw’abadde mu kisaawe kye Kacheka, Mbarara.

Abatuuze b'e Mbarara
Abatuuze b’e Mbarara

Abayimbi okuli Weasel, Pallaso, Cindy, Big Eye, Dj Micheal n’abalala ne bannakatemba omuli Madrat ne Chiko bebawadde abantu essanyu.

Mu kutongoza Bryan White Foundation, omugagga Bryan White yatwalidde abatuuze ebintu bingi nnyo omuli akawunga, ebijanjalo, sukaali, ssabuni n’ebirala.

Bryan White yakubiriza abatuuze mu bitundu bye Mbarara okujjumbira okwekuuma obulwadde nga beyambisa Kondomu, okwewala okunywa enjaga, okulya amayilungi kuba byona tebiyinza kubayamba.

https://www.youtube.com/watch?v=3iAshHnHLKg

https://www.youtube.com/watch?v=GgycW7jTAtM