
Okuffa kw’omuyimbi Mowzey Radio eyali owa Goodlyfe bangi ku bannayuganda tebayinza kwerabira kuba yali omu kwabo abali bayimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba.
Radio yali mulungi nnyo mu kuyimba ate yali muwandiisi wa nnyimba, yagenda okuffa nga ye munne Weasel Manizo balina ennyimba mpitirivu nnyo omuli Ntunga, Mukama, Breath Away, Neera, Obudde, Bikoola, Amaaso, Bring me Back, Nyumbani n’endala.

Radio yakubwa ku bbaala ya De Bar Entebbe nafuna obuzibu ku mutwe, ekyavirako okuffa kwe nga 1, Febwali, 2018, naziikibwa 3, Febwali, 2018 ku kyalo Kagga e Nakawuka ku lwe Ntebbe.
Bukya ava mu bulamu bw’ensi eno, bangi ku bayimbi bakoze ebintu ebyenjawulo okusobola okujjukira ebirungi bye omuli okuyimba ennyimba ze, ennyimba ezikwata ku mugenzi Radio, omugagga Bryan White okuzimba amaka ga nnyina w’omugenzi n’ebintu ebirala wabula omuyimbi Jose Chameleone myaka 38 ayawukanye ku banne.
Chameleone asobodde okukwata ekalamu okukuba ekifaananyi ky’omugenzi ng’akabonero akalaga nti tayinza kumwerabira mu bulamu bwe kuba bali bamikwano nnyo.
