Rema
Rema

Mukyala wa Eddy Kenzo, Rema Namakula ayongedde okulaga nti y’omu ku bakyala abasobola okusikiriza abantu bonna okuyingira ekisaawe ky’okuyimba.

Bangi ku bannayuganda baagamba Rema agenda kugwa kuba ayingidde obufumbo ng’akyali muwala muto era tagenda kufuna budde bwa kuyimba, okulaga bba Kenzo omukwano n’okulabirira abaana wabula byona abimenyewo.

Rema olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga yabadde Mukono ku Satellite Beach mu kutambuza konsati y’oluyimba “Banyabo” era abadigize bavudde mu bitundu bya Mukono ebyenjawulo okujjuza ekifo kyona.

Ku siteegi, Rema yasobodde okuyimba ennyimba zonna era abadigize banyumiddwa nnyo kuba ennyimba ezimu obwedda bayimbira wamu ne Rema.

Olunnaku olwaleero, Rema ali ku Freedom City e Namasuba.

https://www.youtube.com/watch?v=FYi78thoAq8