
Omuyimbi Cindy Sanyu ayongedde okulaga nti mu Uganda y’omu ku bakyala abalina okusigala mu kisaawe ky’okuyimba kuba asobola bulungi nnyo okuvuganya buli muyimbi yenna.
Cindy asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okuteekayo ka vidiyo akalaga nti yabadde mu kifo ekimu ekisanyukirwamu mu Kampala.
Okusinzira ku Vidiyo, kirabika abasajja bangi basabaladde, Cindy kwekusalawo okweyambisa ethambi okulaga kyalinawo.
Kinnajjukirwa sabiti eno ku Mmande abamu ku bannayuganda we bali bawayamu neffa, bagamba nti Uganda, Cindy y’omu ku bakyala abayimbi abasinga okwambala enkunamyo.
