Bya Nalule Aminah

Amyuka omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga lino Brig Sabiiti Muzeyi atandiise okulaga nti ye ne mukama we IGP Martin Okoth Ochola balina okukyusa entambuza y’emirimu mu kitongole kya Poliisi.


Brig Sabiiti yabadde omugenyi omukulu

Brig Sabiiti enkya ya leero akulembeddemu okufulumya abasirikale 609 abamaze okutendekebwa ku mikolo egibadde e Kigo.

Abasirikale banno batandiika okubatendeka nga 17, Janwali, 2018 nga Gen Kale Kayihura akyali omuduumizi wa Poliisi.

Abatendekeddwa balaze obukodyo obugenda okubayamba mu kutambuza emirimu gyabwe