Omuyimbi Spice Daina omwaka 2018 agutandise bulungi ku ludda lwe kuba mu kiseera kino y’omu ku bakyala abakutte ekisaawe ky’okuyimba era abaliko ng’enjogera y’ennaku zinno bw’egamba.

Spice yabadde mu kifo ekimu ekisanyukirwamu kyoka wadde alina ennyimba mpitirivu omuli Anti Kale, Onsanula, Akagaali, Thirty Two (32) n’endala kyoka oluyimba olwa Asipolo lw’atabudde nnyo abadigize era bangi banyeenyeza ku biwato.

Spice Daina
Spice Daina

Spice ku Siteegi yegatiddwako omu ku mukyala omunene (Namudiguli) okuzina kyoka mu kiwato yabadde alina embira.

Mu buganda embira zimanyiddwa okweyambisibwa abantu nga bali mu mukwano era zirina kukoma mu kisenge wadde bangi ku mwe temukimanyi kyoka bambi omukyala yabadde ku siteegi okulaga kyalinawo ng’abantu bakuba endulu.