
Kyaddaki omuyimbi Dj Michael avuddeyo ku bigambibwa nti muyimbi munne Ziza Bafana yagobeddwa mu maka g’omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White.

Bryan White yatandikawo ekibiina ekya Bryan White Foundation era yasobola okuwandiisa abamu ku bayimbi okumuyambako okutunda ekibiina kye ekiyamba abantu abali mu mbeera embi omuli Dr Jose Chameleone, Cinderella Sanyu, Weasel Manizo, bannakatemba omuli Alex Muhangi, Madrat ne Chiko kyoka bonna bakulemberwa omuyimbi Dj Michael.

Kigambibwa sabiti eno, omuyimbi Bafana yagenda mu maka g’omugagga Bryan White okusaba okwegata ku kibiina kyoka abakuumi bamulemesa okuyingira munda kuba tamanyiddwa mu ludda lwabwe.
Wabula Dj Michael awakanyiza ebigambibwa nti yakulemberamu okusindikiriza Bafana, agamba omuyimbi yenna alina okweyambisa amakubo amatuufu okusobola okwegata ku Bryan White Foundation.
https://www.youtube.com/watch?v=YhbTaoLgLG4
