Ssaabasajja Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II alabudde abakulembeze b’amawanga agakyakula nga Uganda ne Kenya n’amalala nti okwekulakulanya bateekeddwa okutumbula enkolagana yaabwe n’abakulembeeze b’enono.

Kabaka okwogera bino abadde asisikanye abakulembeze baba Kikuyu okuva e Kenya nga bakulembeddwamu abakulembeze baabwe ab’enono, abasisinkanidde mu bimuli bya Twekobe ku Bulange e Mmengo.

Ssaabasajja agamba nti abakulembeze mu Gavumenti z’ebitundu bateekeddwa okumanya ebizibu ebinyigiriza abantu, nga ekyo okutukibwako, walina okubaayo enkolagana eyanamaddala.

Mungeri y’emu Kabaka awadde abakulembeze b’enono amagezi okukola ennyo okukuuma eby’obuwangwa kuba abantu bangi nnyo abagala okubusaanyawo mu ngeri yonna.

Wabula ssentebbe w’olukiiko lw’abataka olwa baKikuyu Peter Mongi alopedde Kabaka nti mu ggwanga erya Kenya okuboolebwa kweyongedde wadde bangi kubo bakozi nnyo ate bagagga nnyo.

Vidiyo okuva ku NBS

https://www.youtube.com/watch?v=J9LgdjFBqZo