
Mwana muwala Sheebah Kalungi ayongedde okulaga nti mu Uganda y’omu ku bakyala abalina ekitone mu kuyimba n’okukyamula abantu ku siteegi singa afuna omukisa gwona oguyimbira abadigize.
Kinajjukirwa nti ku ntandiikwa y’omwezi ogwa March, 2018, akakiiko akatekebwawo Minisita avunaanyizibwa ku kukwasisa empisa n’obuntu bulamu Rev. Simon Lokodo kalangirira okangavula abayimbi abegumbulidde okusasaanya obuseegu nga bayita mu nyambala yabwe.

Akakiiko akakulemberwa Dr Annette Kezaabu kalangirira nti mu Uganda abayimbi okuli Sheebah Kalungi, Cindy Sanyu n’abalala bambala nnyo enkunamyo okusasaanya obuseegu era ssinga tebeddako bagenda kangavulwa mu mbuga z’amateeka.
Wabula wadde balangirira okubonereza Sheebah, tewali nkyukakyuka yonna kuba ennaku zinno, ayongedde okulaga nti ye alina okweyambisa n’omubiri gwe okusanyusa abantu era tewali muntu yenna ayinza kumuyimiriza.
Sheebah yabadde mu kifo ekimu ekisanyukirwamu mu Kampala, kyoka yalinye ku siteegi ng’ayambadde mu ngeri ey’ekisaazisaazi era abamu ku basajja babadde balowooza nti akikoze kukyankalanya waaya zabwe ate abalala obwedda bagamba nti ayongedde okugyemera Minisita Lukodo ku ngeri omuyimbi yenna gy’alina okwambalamu.
