
Omuyimbi Eddy Kenzo awadde bannayuganda amagezi okukola ennyo okusobola okutunda Uganda mu nsi yonna.
Kenzo mu kiseera kino ali mu ggwanga erya Bungereza mu kibuga London n’abayimbi abalala okuva mu ggwanga lino Uganda kyoka munnamawulire nga munnayuganda awangalira mu ggwanga erya Bungereza yasabye Kenzo okunyonyola engeri gyasobodde okumanyika mu nsi yonna.

“Kenzo wali mwana muto nga ndi mukulu nnyo ku gwe naye mu kiseera kino omanyikiddwa mu nsi yonna oli illuminati, okikoze otya”, bwatyo munnamawulire bwe yabuziza Kenzo.
Omuyimbi Kenzo yasobodde okumwanukula nti ye ssi illuminati, ayagala nnyo obuwangwa bwe nga y’emu ku nsonga lwaki ayimba mu luganda, vidiyo ntekamu nnyo obwongo nga n’ebivuga bwawukana nnyo ku nnyimba endala zonna era kisobodde okunyamba okufuna abawagizi mu nsi yonna, abantu ne bagamba nti illuminati.
Mungeri y’emu asabye ba polodyusa mu ggwanga erya Bungereza okwekolamu omulimu bakole ennyimba eziri ku mutindo gw’ensi yonna kuba balina obusobozi ate basemberedde tekinologye.
https://www.youtube.com/watch?v=T65UWpe65xs
