Kyaddaki omuyimbi Douglas Mayanja (Weasel Manizo) avuddeyo ku nsonga ze ne manejja wa Goodlyfe Kyagambidwa Geoffrey (Chagga) mu ntambuza y’emirimu.

Gye buvuddeyo Weasel yavaayo nalangirira nti Chagga amugobye ku bwa manejja bwa Goodlyfe kuba asukkiridde okutataaganya emirembe gye.

Weasel agamba nti yali yakafirwa mukwano gwe Moses Nakintije Ssekibog (Mowzey Radio), Chagga yamukaka okuyimbira abantu kyoka nga yali akyali mu maziga nga y’emu ku nsonga lwaki yamugoba.

Wabula bwe babadde mu kibuga London mu ggwanga erya Bungereza mu lukungana lwa bannamawulire, Weasel yagambye nti Chagga mukwano gwe nnyo era tebayinza kwawukana okuva mu Goodlyfe kuba bavudde wala nnyo wadde ennaku ezimu bafunamu obutakanya ng’abantu.

Ate Chagga yagambye nti ye omusaayi gwe gulimu Goodlyfe era tayinza kugenda kyoka okufa kw’omuyimbi Radio kwabakosa kinene kuba yali mpagi luwaga mu kukulaakulanya n’okuzimba ekibiina kyabwe.

Genda ku ddakika ya 33

https://www.youtube.com/watch?v=zavql3ZouIY