
Omuyimbi Fik Fameica ayongedde okutinkuula omutima gw’omuwala Sheila Gashumba omukozi ku NTV mu pulogulamu “The Beat”.
Bangi ku bannayuganda balowooza Fameica ali mu mukwano ne Sheila, muwala wa Frank Gashumba kyoka tewali muntu yenna alina bukakafu.

Sheila akoze ebintu ebingi nnyo okulaga nti ye muwagizi wa Fameica omuli okuyimba ennyimba ze ng’ali yekka mu vidiyo z’essimu.
https://www.youtube.com/watch?v=TkzQSIH9Zqg
Wabula sabiti ewedde ku Lwokuna nga 29, March, 2018, ku mukolo gwa Zzina Awards ku Sky Beach e Namasuba ku Freedom City, Sheila Gashumba y’omu kwabo abawala abalaga eswagga, obwagazi, omukwano n’okunyumirwa, omuyimbi Fik Fameica bwe yali ku siteegi ng’ayimba.

Oluyimba lwa Fameica olwa “Property” lwakyusa embeera, Sheila nayimuka okuva mu ntebbe, nayimbira wamu ne Fik era bangi ku badigize bategeeza nti kabonero akalaga nti bali mu mukwano.
https://www.youtube.com/watch?v=Zyt5UN4ovHo
