
Omuyimbi Winnie Nwagi ayongedde okulaga nti mu Uganda y’omu ku bakyala abasobodde okutumbula talenti zabwe nga beyambisa ennyimba n’emibiri gyabwe.

Nwagi olunnaku olw’eggulo, y’omu ku bayimbi abangi abasobodde okusanyusa abadigize mu kugulawo ekifo ekisanyukirwamu ekya “Zzinaland” e Mpererwe.

Ku siteegi Nwagi yabaddeko n’abazinnyi be babiri (2) kyoka yabadde ayambadde olugoye olusikiriza buli muntu kuba yabadde alaze ethambi.
Omusajja yalinye ku siteegi, Nwagi namukiriza okukwata mu kiwato ne ku thambi, oluvanyuma yabadde agaanye okuva ku siteegi ekyawaliriza Nwagi okumusindikiriza.
Mu kiseera kino Zzinaland ky’ekifo ekisanyukirwamu e Mpererwa ekirina buli kintu, omuntu yenna kyeyetaaga okulya obulamu omuli eby’okunywa, ba DJ abalungi, n’ebintu ebirala.
