Bya Nalule Aminah

Poliisi erabudde okangavvula abasuubuzi abalemeddeko abakyatunda engoye ezefananyirizaako ez’ebitongole ebikuuma eddembe okuli Poliisi n’amaggye.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Patrick Onyango, bawadde abantu bonna n’abasuubuzi sabiti emu yokka okuzaayo engoye zonna ezefananyirizaako eza Poliisi oba amaggye era omuntu yenna anagaana bagenda kumukwata.

Omuyimbi Jose Chameleone
Omuyimbi Jose Chameleone

Onyango bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku CPS mu Kampala agambye nti abantu bangi babadde basukkiridde okweyambiza engoye bwezityo okwenyigira mu kumenya amateeka omuli okubba abantu.

Mungeri y’emu Onyango agambye nti abasuubuzi mu ggwanga lyona n’abatuuze balina okweyambisa ba DPC mu bitundu byabwe okuwaayo engoye bwezityo kuba singa tebakikola, bagenda kwattibwa.