
Mu nsi yonna abakyala bangi nnyo baagala okusikiriza abasajja nga bayita mu nnyambala yabwe era abamu kibakolera.
Mu Uganda, abakyala n’okusingira ddala abayimbi, baagala nnyo okweyambisa emibiri gyabwe okutunda ennyimba zabwe n’okufuna abagoberezi era y’emu ku nsonga lwaki obuseegu mu bayimbi bweyongedde.
Embeera eyo, omuyimbi Lydia Jazmine asobodde okweyambisa omukutu gwe ogwa Instagram okusomosa abasajja.
Jazmine ye agambye nti engeri gy’ayambaddemu n’entambula y’engeri omuntu yenna gy’ayinza okweyisaamu singa agenda mu kifo ekisanyukirwamu ne bakuba oluyimba lwasinga okwagala.
