Vincent Ssekate
Vincent Ssekate

Poliisi ekutte ebintu ebitali bimu ebikozesebwa okuzimba ekisaawe ky’ennyonyi mu disitulikiti y’e Hoima.

Okusinzira ku Poliisi, abatuuze basobodde okugitemyako nti abali ku mulimu gw’okuzimba basukiridde okwenyigira mu kubba ebintu ebyenjawulo.

Ebyakwattiddwa kuliko ebidomola by’amafuta 50, ensawo za seminti, pikipiki, drum z’amafuta enkalu 8 n’ebintu ebirala.

Omwogezi wa Poliisi enoonyereza ku misango, Vincent Ssekate, agambye nti abatuuze basobodde okuyamba Poliisi kuba ekisaawe ky’ennyonyi ekizimbibwa kigenda kuyamba nnyo ekitundu kyabwe.

Mungeri y’emu agambye nti bafunye amawulire nti waliwo abasirikale babwe ababadde benyigidde mu kubba ebintu ebyo, era Poliisi etandiise omulimu gwaayo ogw’okunoonyereza.

Ssekate era agambye nti Pikipiki ekwattiddwa ya Gavumenti era balina okuzuula lwaki Pikipiki ya Gavumenti ebadde ewerekera ebintu ebibbe.

Mu kiseera kino Poliisi ekutte abantu 9 ate abalala bangi nnyo bakyanoonyezebwa.