Poliisi erabudde okangavula omuyimbi Jose Chameleon ku by’okukiriza abaana be okuvugga emmotoka ku myaka emito.

Sabiti eno, mukyala wa Chameleon Daniella Atim, yazaala omwana mu ggwanga erya Bungereza era mu kiseera kino famire eri mu ssannyu.

Omukyala n'omwana
Omukyala n’omwana

Kigambibwa Omuyimbi Chameleon yabadde ageenze okulaba ku mwana kyoka olw’essanyu, yakiriza batabani be okuli Amma ne Alba okuvuga emmotoka ku myaka emito.

Norman Musinga
Norman Musinga

Wabula aduumira poliisi y’ebidduka mu Kampala, Norman Musinga agambye nti kimenya amateeka omwana yenna okuvuga emmotoka era singa omwana yenna akwattibwa, omuzadde ayinza okusibwa oba okusasula ssente oba byombi.

Mungeri y’emu agambye nti omwana yenna nga tanaweza myaka 18, tarina kuvuga mmotoka kyoka batabani ba Chameleon balabiddwako nga bavuga ku mukutu ogwa Instagram, ekintu ekitakirizibwa.