Omuyimbi Vinka owa Swangz Avenue alemeddeko mu kisaawe ky’okuyimba era mu kiseera kino y’omu ku bakyala abavuganya ennyo mu ggwanga lino.

Vinka sabiti eno, yayingizaawo vidiyo y’oluyimba “Chips Na Ketchup” kyoka kizuliddwa nti oluyimba olwo luyina vidiyo 4.

Mwana muwala Vinka eyakuyimbira Malaika, Overdose, Love Doctor n’endala, yagenze okulowooza okukola vidiyo y’oluyimba Chips Na Ketchup ng’abantu abenjawulo bagikola dda.

https://www.youtube.com/watch?v=roFZf39Mo1o