
Ssenga w’ensonga z’omukisenge era omukozi mu Sanyuka TV Justine Nantume abikudde ekyama lwaki Zuena Kirema mukyala w’omuyimbi Bebe Cool asobodde okuwangaza omukwano.
Ssenga Nantume agambye nti omukyala yenna ayagala okuwangaza omukwano, alina okukyalira ensiko, okuteeka ebisoko mu kaboozi era Zuena byona asobodde okubitukiriza.

Mungeri y’emu agambye nti Zuena kirabika aloga bba Bebe Cool kuba buli mwana gwazaala ebbali, ateekeddwa okufa.
Ssenga Nantuma bwe yabadde mu kivvulu ekitegekebwa munnakatemba Alex Muhangi buli sabiti e Lugogo, yawadde abasajja amagezi okomya okuzira akaboozi kuba kiyinza okutabangula omukwano gwabwe.
https://www.youtube.com/watch?v=OxYrCy5YpFE
