
Omuyimbi Chris Evans atwaliddwa mu ddwaliro Mengo nga biwala ttaka oluvannyuma lw’ababbi okumukuba ne bamuleka ng’ali mu mbeera embi.
Chris Evans abadde ava ku mirimu gye, okudda awaka nga busasaana enkya ya leero mu mmotooka ekika kya “Toyota wish” akubiddwa ennyondo ku mutwe era mu kiseera kino mu ddwaliro Mengo gy’ali, abasawo, bakola kyona ekisobola okutakiriza obulamu.

Ababbi, babadde ku bodaboda nga Chris Evans ayolekera okudda awaka e Lungujja, Mutundwe ne bazingako emmotoka, ne baasa endabirwamu era akubiddwa ennyondo eziwerako nasigala ng’ali mu mbeera embi.
Ababbi batutte ebintu ebyenjawulo omuli ssente, amassimu n’ebintu ebirala.
Evans amanyikiddwa nnyo ng’omu ku bayimbi abayimba ennyimba z’omukwano omuli Mulungi, Ndikusasula ki, Bwolonda, Linda ne Rema Namakula.
