
Ekiyongobero kyongedde okusanikira mu ggwanga erya Kenya olw’abantu okweyongera okufa n’abali mu malwaliro okutaawa.
Webukeredde olwaleero, ng’abantu 47 bebakafa olwa ddaamu y’amazzi okwabika olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna ekiro ku kyalo Solai mu ggombolola y’e Nakuru, kilometre 190 okuva mu kibuga Nairobi.


Ddaamu emanyikiddwa nga Patel Dam ya mugagga Patel okuva mu ggwanga erya India era abadde agyeyambisa okufuyira ebirime kyoka okwabika kivudde ku namutikwa w’enkuba afudemba ennaku zinno.
Abantu abasuuka mu 2,000 tebasigaza manyumba, amasamba g’ebirime gaweddewo, eby’omu nju byatwaliddwa ate abafunye ebisago balajjana mu malwaliro.
