Omuyimbi Ykee Benda ayuugumiza kirabu Amnesia mu kiro ekikeseza olwa leero mu kivvulu kya Campus Night ekibeerawo buli Lwakuna.

Ykee Benda ayimbidde wakati mu byana biwala okumusomooza nga bimukutte ku fulaayi, enduulu n'etta abalabi era asobodde okuyimba ennyimba ze zonna omuli Superman, Byonkola, Malaika, Kyenkyebula, MunaKampala n'endala.

Ennyimba za Ykee Benda kiraga nti asajjakudde mu kisaawe ky'okuyimba.

Ykee Bender awerekeddwako omuzinnyi Eddie Wizzy era basobodde okukyamula kirabu yonna.