Kyaddaki omuyimbi Jose Chameleone avuddeyo ku nsonga za Robert Karamagi eyafa mu 2012.

Mu December, 26, 2012, omuvubuka Karamagi yayokebwa petulooli mu maka ga Chameleone e Seguku n’atwalibwa e Mulago gye yafiira nga December 27, 2012. Wayita akeseera, ofiisi wa Ssaabawaabi w’emisango Mike Chibita n’eragiga fayiro eno eggalwewo olw’okubulwa obujulizi.

Jose Chameleone
Jose Chameleone

Wabula Chameleone bw’abadde mu ggwanga erya Bungereza mu kibuga London, agamba nti obutagaliza n’enkwe y’emu ku nsonga lwaki bangi ku bannayuganda basoosowaza nnyo ensonga za Karamagi.

Mungeri y’emu agambye nti eggwanga lyona okulakulana, abantu balina okweyagala ekitali mu Uganda.

Mu kiseera kino wadde abantu bangi nnyo bakyebuuza ku nfa ya Karamagi, omuyimbi Chameleone talina musango kuba tewali bujjulizi.

https://www.youtube.com/watch?v=Srhg6GoroVs