Kyaddaki omuyimbi Ivan Kauma amanyikiddwa nga Qute Kaye azzemu okwezuula nti y’omu ku bayimbi abalina talenti era abalina okuvaayo okuyimusa ekisaawe ky’okuyimba mu ggwanga lino.

Qute Kaye eyacaaka ennyo olw’ennyimba okuli; ‘Ginkeese’ (emikwano), ‘Gwe ndoota’ n’endala sabiti ewedde yasimatuka okugajambulwa abatuuze e Bugesa oluvannyuma lw’okumukwata lubona ng’asumulula amataala g’emmtoka ya  Jackson Musisi omutuuze e Busega namba UBA 482X kyoka oluvanyuma omugagga yamusonyiwa.

Omuyimbi Qute Kaye abadde amaze ebbanga ng’ebintu tebimutambulira bulungi era gye buvuddeko yagenda ewa Paasita Robert Kayanja ku Lubaga Miracle Centre Cathederal ne bamusabira n’ategeeza nti alokose era yeenenyezza ebibi bye.

Wabula wadde embeera eri bwetyo, Qute Kaye asobodde okufulumya oluyimba “Nali mbuze” ekiraga nti asobodde okutegeera ensobi ze era ye ssaawa asonyiyibwe.

Polodyusa Pady Man yeyakutte oluyimba olwo, okusobola okuyamba Qute Kaye okuddamu okuvuganya mu kisaawe ky’okuyimba.

https://www.youtube.com/watch?v=CnxPTW9KLyw