
Kyaddaki omuyimbi Weasel Manizo alabudde ku abantu abagala okumutta kuba alemedde ebintu by’omugenzi Moses Ssekibogo (Mowzey Radio).
Weasel bwe yabadde ku NBS mu Pulogulamu After 5, olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu agamba nti baganda b’omugenzi nga bakulembeddwamu ategerekeseko erya Frank besomye okumutusaako obulabe singa teyesonyiwa ebintu bya Radio.

Mungeri y’emu agambye nti Frank ne banne batwala dda ebintu by’omugenzi omuli ttiivi, firigi n’ebirala okuva mu maka gabwe e Makindye.
Omuyimbi Weasel agamba nti alina okulwanirira ebintu bya Radio kuba yali akolerera baana be kyoka bagandabe batandiise okutwala ebintu bye era yetegese okufa n’omuntu.
Weasel nti abantu basukkiridde okumusaba ennyimba nga yakamala okufirwa muganda we Radio, ekiraga nti naye balinga abagala nfe.
https://www.youtube.com/watch?v=2Ed4lI0h1ws