Oluvanyuma lwa Ibrahim Abiriga abadde omubaka wa Arua mu Palamenti okuttibwa ku lunnaku olwokutaano, nate omubaka w’e Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ayogedde ebikankana.

Ibrahim Abiriga
Ibrahim Abiriga

Abiriga yattiddwa ne muganda we Saidi Butele era abadde omukuumi we, nga bakubiddwa amasasi  agabatiddewo okumpi ne Energo Fuel Station e Kawanda okumpi n’amaka g’e mu disitulikiti y’e Wakiso ku Lwokutaano akawungeenzi.

Omugenzi Saidi Butele
Omugenzi Saidi Butele

Wabula omubaka Kyagulanyi Ssentamu agamba nti engeri abantu gye battibwamu, kabonero akalaga nti omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ne bitongole ebikuuma ddembe balemeddwa okukuuma bannansi n’ebintu byabwe.

Bobi Wine bw’abadde ayogerako ne bannamawulire ku mukutu gwa NBS, agambye nti Pulezidenti Museveni alina okukiriza nti ebyokwerinda bimulemye okusinga okuwudiisa bannansi.

https://www.youtube.com/watch?v=-17r7pcuFto