
Abayimbi okwegata ne bateeka enjawukana emabali, kyongedde okuyamba n’okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba mu ggwanga lino.
Winnie Nwagi ne Ykee Benda bongedde okutumbula enkolagana yabwe ekigenda okuyamba okuyiiya ennyimba ezinyumira abadigize.
Kigambibwa Benda yawerekeddeko Nwagi mu kukwata vidiyo y’oluyimba Munange.
Nwagi asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okutegeza nti abantu bonna nti vidiyo y’oluyimba olwo, egenda kufuluma essaawa yonna.