
Kyaddaki mukyala w’omuyimbi Eddy Kenzo, Rema Namakula asabukuludde ebyama lwaki bba mulwadde ennaku zino.
Okuva sabiti ewedde, Kenzo mulwaddelwadde era yaliko ku kitanda mu ddwaliro mu Kampala nga mugonvugonvu.

Wabula Kenzo yabadde tanavayo kutegeza abagoberezi be ekimuluma wadde yasobodde okuteeka ebiwandiko ku mukutu gwe ogwa “Face Book” ebiraga nti yakebeddwa sirimu nga talina (Negative).

Wabula mukyala we Rema agambye nti Kenzo mulwadde wa Alusa ate akola nnyo nga n’obukoowu bwabadde bungi nnyo ne bunafuya omubiri gwe.
https://www.youtube.com/watch?v=MLQ9ZPQbB3I