Omuyimbi Ibrahim Mayanja amanyikiddwa ennyo nga Big Eye atabukidde ebitongole ebikuuma ddembe ku mateeka amaggya agayisiddwa.

Ku ntandikwa ya sabiti eno, abakulu mu bitongole ebikuuma ddembe we bali bogerako eri eggwanga ku nsonga y’ebyokwerinda ku Serena Hotel mu Kampala, okwali Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odongo, akulira ekitongole ky’amakkomera Johnson Byabashaija, omuduumizi w’amagye Gen. David Muhoozi, Minisita w’Obutebenkevu Gen. Elly Tumwine, Minisita w’ebyokwerinda Adolf Mwesige, Omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo ne Martin Okoth Ochola adduumira Poliisi mu ggwanga, balambika ebiteekeddwa okolebwa okunyweza ebyokwerinda n’okusingira ddala okutangira obutemu mu ggwanga.

Gen. Jeje Odongo
Gen. Jeje Odongo

Minisita Gen. Jeje Odongo, yalangirira nti teri kuddamu kukiriza muntu yenna kuteeka “ttinti” ku ndabirwamu z’emmotoka kuba abantu abakyamu basukkiridde okuzekwekamu nga bakola ebikolobero omuli okutta abantu, nga omugenzi AIGP Andrew Flex Kaweesi, Ibrahim Abiriga n’abalala.

Omugeenzi Ibrahim Abiriga
Omugeenzi Ibrahim Abiriga

Ku nsonga eyo, Omuyimbi Big Eye agamba nti okuwera ttinti kigenda kutumbula okumenya amateeka mu ggwanga lino, omuli ababbi okutegeera amaangu abantu bebagala okubba, okutta n’okukubwa.

https://www.youtube.com/watch?v=-IstvH6fFSw