
Munnamateeka wa Betty Nambooze Bakireke akikirira abantu be Mukono mu Paalamenti, Omuloodi ssalongo Erias Lukwago alabudde okutwala mu kkooti abantu bonna, abakulembeddemu okutyobola eddembe ly’omuntu wabwe.
Olunnaku olw’eggulo, Nambooze yayimbuddwa ku kakalu ka poliisi era amangu ddala yagiddwa mu ddwaliro e Kiruddu, natwalibwa e Bugolobi ku medical Center gye bagenda okumugya okutwalibwa mu ggwanga erya okumutwala mu ggwanga erya India.

Nambooze yakwatiddwa dda Poliisi abeeko byatangaaza, oluvanyuma lw’okuttibwa kwa Ibrahim Abiriga eyali omubaka we Arua mu Paalamenti ne muto we Saidi Congo Buga nga bonna battibwa mu bukambwe nga bakubwa byasi, K awanda nga badda awaka.

Nambooze abadde mu mikono gya Poliisi mu ddwaliro e Kiruddu ng’ali mu mbeera embi ng’ekyuma kye baamussa mu mugongo kyongedde okuseeseetuka, okutuusa olunnaku olw’eggulo, Poliisi lweyakiriza okumuyimbula kakalu ka Poliisi.

Nambooze wadde yayimbuddwa, atekeddwa okuddamu okweyanjula ku Poliisi nga 29, Julayi, 2018
Wabula Munnamateeka wa Nambooze, Lukwago, agamba nti abantu bonna abenyigidde mu kutyobola eddembe lya Nambooze, balina okubatwala mu kkooti.


