
Frank Gashumba omu ku basajja abamanyikiddwa ennyo mu ggwanga lino okwogera ku nsonga ezirima abantu alabudde abawala okomya okufumbirwa abasajja lwa waaya zabwe n’okunyumisa akaboozi.
Gashumba agamba nti wadde omusajja anyumisa akaboozi tekigenda kuyamba nga tasobola kuwa mukyala we ebyetaago ebitali bimu.
Bw’abadde ayogerako eri abagoberezi be ku mukutu ogwa Face Book, agambye nti muli mukyala alina okufuna omusajja alina ku ssente, omutetenkanya kuba wadde omusajja anyumisa akaboozi nga bwavu, obulamu buyinza okuzibuwala.
Mungeri y’emu atabukidde abaami abalemesa abakyala okukola nga bekwasa obusongasonga obutaliyo.

Ebigambo bya Frank Gashumba, biyinza okulemesa abasajja abangi okuwasa muwala we Sheila Gashumba kuba abasajja bangi nnyo abayinza okumwegwanyiza kyoka ne batya lwa taata nti mukambwe nnyo, ayinza n’okuyingira mu nsonga z’amaka gabwe.