Abatuuze ku kyalo Bubajjwe mu gombolola y’e Kawempe bavudde mu mbeera ne bookya agambibwa okubeera obubbi w’akasimu nafirawo.

Attiddwa bamwokeza yenna era omulambo gwe gufuuse bisiriza.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke oweyesigyire, ababbi baludde nga batigomya ekitundu kyoka abatuuze basobodde okukwata Ganya Ssadam okuyambako Poliisi okunoonyereza kyoka munne atamanyiddwa mannya yattiddwa.

Omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika e Mulago ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Bbo abatuuze bagambye nti bakooye ababbi abasukkiridde okutigomya ekitundu kyabwe nga bamenya amanyumba ne batwala ebintu ebyenjawulo omuli Ttiivi, ssente, amassimu n’ebintu ebirala.