Lydia Mirembe
Lydia Mirembe

Munnakatemba Charles Kakooza amanyikiddwa nga MC Mariachi asimattuse okuvundira mu kkomera era yayimbuddwa olunnaku olw’eggulo akawungeenzi.

MC Mariachi eyeyita Kabaka w’okwasama eyakwatibwa ku Lwomukaaga yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Esther Nyandoi owa kkooti ya Mwanga II e Mmengo ku misango egyenjawulo omuli okulemesa abasirikale okutambuza emirimu gyabwe, okukuba n’okulumya omusirikale, okuvugisa ekimama, okuvuga ng’atamidde n’emisango emirala.

MC Mariachi
MC Mariachi

Omulamuzi Nyandoi yawonyezza MC Mariachi n’omukwano gwe Micheal Bunjo ekkomera era bakiriziddwa okweyimirirwa ku ssente emitwalo 50 buli omu ez’obuliwo.

MC Mariachi yaleese abantu abenjawulo okumweyimirirwa omuli mukwano gwe Polepole,  ow’oluganda lwe Nabosa Annet ne Andrew Benon Kibuuka akulira ekibiina ekigata abayimbi ne bannakatemba ekya Uganda performing Artists Association era bonna basabiddwa ssente obukadde 2 buli omu ezitali za buliwo.

Wabula mukyala wa MC Mariachi, Lydia Mirembe awakanyiza ebigambibwa nti bba yenyigidde mu kulwanagana.